28/08/2026
Rukirabasaija Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV amanyiddwa ennyo nga "King Oyo" y'abadde omukulembeze ow’ennono ow’Obukama bwa Tooro ow’e 13.
Oyo yazaalibwa nga 16 April 1992.
Yalya engoma nga 12 September 1995 oluvannyuma lw’okufa kwa kitaawe Omukama Patrick David Mathew Kaboyo Rwamuhokya Olimi n’Omugo Best Kemigisa.
Yalya engoma ng’alina emyaka esatu gyokka bwatyo n’agenda mu byafaayo ng’okulembeze w’ennono abadde akyasinze obuto mu nsi yonna.
Olubiri olutongole lusangibwa Karuziika mu kibuga Fort Portal.
MHSRIP 🕊 🕊 🕯